OSANGA WAALIYAMBIDDWA
Bino byetuleese tewaalisaanye obisubwe,
Osanga waaliyambiddwa singa obimanya,
Kale nno mubagambe abali eyo banguwe,
Anti tuleese bingi byebasaanye okumanya:
Ffe twewuunya abakyali kwebyo ebyebwe!
Nebatajjukira nti bibagaana okumanya!
Nabo mubatemyeko baleke awo ebyabwe,
Bamale okuwulira ebiribayamba okumanya.
. Mirembe mirembe, abakulu eb’ebitiibwa.
. Ab’emyaka egyaffe, buladde buladde.
. Tumwebaza oyo Ddunda, okulukeesa luno.
. Nga nze, naawe n’oli tukyassa omukka.
Eky’okunnyikira Kristu ky’eky’ensonga,
Ky’ekituleese era kyetugenda okubunya.
Tumulangirire mu b’engula n’emmanga,
Ne mubukiika bwombiriri balina okumanya.
Nabo bategeere Kristu nti y’asinga;
Tulyoke tumusinze awatali kweganya.
Katumunnyikire kuba teri amusinga,
Tumulangirire anti yasaanye okubunya.
. Ye mukebezi ate ye mubeezi.
. Ye musaasizi ero ye mulokozi.
. Ye muzuuzi ate ye mujulizi.
. Ye muwanguzi era ye mununuzi.
Bwetutabeera na Kristu kyakabi ddala,
Bwebunnyogovu obw’obutamanya oy’o Mukama.
Obutawaayo kiseera eri omukama,
N’obutabeera bagumu mubukatoliki.
Okubeera n’emitima egijjudde etiima,
N’obutaawula byabuwangwa na Katonda.
Okuddirira mu by’okwezza obugya,
Mubisuubizo ebyaffe ebyabafiisimu.
. Olwo omulabe waffe nga ye akuba kalippo.
. Saakalamentu ery’obulamu neritusuba eryo.
. Abamu bali mubufumbo nga nabwo sibutuufu.
. Okusinza sitaani, nakwo kweyongera nnyo.
Okunnyikira Kristu n’okumulangirira;
Tebyava wano kumpi wabula eri Katonda.
Bwetubikula Bayibuli ebitulaga,
Muvvanjiri ya Mariko omutwe ogusooka.
Akanyiriri ak’ekkumi, era n’ekkumi n’akamu.
. Yezu bweyali nga yaakava mu mazzi amagu ago,
. Eddoboozi neriva muggulu nga ligamba nti,
. “Ggwe Mwana wange omwagalwa.”
. “Era gwensiimira ddala.”
. . Okwonno bakulu, kwali kulangirira okwo.
. . Abaakuwulira, Kristu baamunnyikira.
. . Era y’ensonga, lwaki baawandiika.
. . Ekitabo ekitukuvu, Bayibuli omujulizi.
Nga tubasiibula anti ataakusulire,
Katubaagalize Kristu abeere ettaala.
Mumaka gyetuva eyo ne mumasomero,
Abeere omusingi eri ffe emiti emito.
Mubibuga ebirungi ne mumalwaliro,
Amulise kubanga yasinga okwaka.
Mubakaddiye ennyo ne mubavubuka,
Abeere wakati mubo nga muwabuzi.
Olwo Ekereziya, anaabeera wamulembe.
Ensi yaffe nayo olwo, eneeba yaamuwendo,
Kalenno ab’oluganda, mujje tufune Kristu.
Ffe tumunnyikire, era tumulangirire.